Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 305 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Eddwaliro lya Gavumenti teririna wadde Panadol – Kiganda HC IV

August 22, 2016 · Mubiru Ali

Akulira eddwaliro lya Gavumenti erya Kiganda Health Center iv mu Disitulikiti y’e Mubende Dr. Jude Kizza awuniikirizza omumyuka wa Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’ebitundu Jennipher Namuyangu, bw’amutegeezezza nti eddwaliro eryo likulungudde ebbanga eriwerako nga terifuna wadde empeke ya Panadol.

Dr. Jude bino abyogedde bw’abadde alambuza Minisita ono eddwaliro n’amutegeeza nti kino kiviiriddeko abantu abawera emitwalo esatu okuba nga babonaabona bubonyiibonyi olw’embeera eno okubeera bw’eti songa ate n’ensimbi eziweebwa eddwaliro lino ntono ddala .

Wabula ye Minisita Namuyangu asuubizza okukolagana ne Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu ekizibu kino kisalirwe eddagala .