Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 261 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

EDDWALIRO LIREMEDDE OMULAMBO LWA BUKADDE 31 EZIBANGIBWA – BANNAMATEEKA BABIYINGIDDEMU

July 1, 2021 · Mubiru Ali
ย 
Bannamateeka aba Luzige, Lubega, Kavuma and Company Advocates nga bakolera ku biragiro bya Tamale Tofa ne Namata Regina bavuddeyo nebawandiikira eddwaliro lya Paramount Hospital Kampala nebalitegeeza nga bwebagenda okulikuba mu mbuga lwakulemera mulambo gwa muntu olwa bukadde 31 bwebagamba nti babanja.
Tamale ne Namata bagamba nti batwala omuntu waabwe mu Ddwaliro okufuna obujanjabi nti wabula oluvannyuma lwakabanga bamuggya ku oxygen olwo nebateekako Munnansi wa Asia eddwaliro gweryagamba nti yali muyi nnyo okusinga kuwaabwe nti era oluvannyuma lwenaku 3 omuntu waabwe naafa olwokuba teyali ku oxygen.
Bano bagamba nti eddwaliro teryakola mulimu gwalyo ogwokutaasa obulamu wamu nokulemera omulambo gwomuntu waabwe.