Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 350 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Eddie Mutwe, Nubian Li nabalala baziddwayo mu kkomera

February 15, 2021 · Mubiru Ali

Kkooti y’amaggye egaanye okusaba okweyimirirwa okwa Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP abasoba mu 30 nga egamba nti singa bateebwa bandiddamu okukuma mu bantu omuliro okukola effujjo.
Eddie Mutwe ne Nubian li n’abalala 34 baziddwayo mu Kkomera lya Gavumenti e Kitalya.
Ssentebe wa Kkooti eno Lt . Gen Andrew Gutti avuddeyo nalagira Gavumenti okukola okunoomyereza mu bwangu ku bano omusango gusalibwe.
Kkooti tewadde ddi lwebanaddizibwa mu Kkooti
Bbo Bannamateeka baabwe bagamba bagenda mu Kkooti Enkulu ewalirize Kkooti okubata kuba lino ddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka. https://youtu.be/Y08RCM7de8Q