Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 276 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Eddagala erigema COVID19 lyabuwumbi 28 nomusobyo lyelyayonoonekera mu sitoowa za NMS

January 9, 2024 · Mubiru Ali
Alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti John Muwanga eraga nti eddagala erigema ekirwadde kya COVID-19 eriwerera ddala 5,619,120 nga libarirwamu obuwumbi 28.159, lyaggwako nga likyali mu sitoowa za National Medical Stores, Uganda, so nga lyagulibwa ku ssente ezewolebwa okuva mu Bbanka y’Ensi yonna.
Alipoota eraga nti eddagala eddala eryaggwako likyali mu malwaliro okwetoloola eggwanga lyonna nga kigambibwa nti lyonna bwoligatta awamu Uganda ejjakuba efiiriddwa obuwumbi 300.