Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing · 316 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Ebyokweyimirira Ssegiriinya ne Ssewanyana biwanvuye

January 24, 2023 · Mubiru Ali
Kkooti Enkulu e Masaka eyongezzaayo okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa kw’Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Allan Ssewanyana ne Hon Ssegirinya Muhammad okutuusa nga 13 ne 14 omwezi ogujja ogwookubiri 2023, kino kidiridde oludda oluwaabi okusaba Kkooti lwongerwe ekiseera.
Wabula Munnamateeka w’Ababaka bano, Erias Lukwago akalambidde ng’ayagala kkooti ebayimbule bafune obujjanjabi omulamuzi kyagaanye.