BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Eby’okwerinda bya Palamenti bisattuludde olutuula olusoose

Okukubaganya ebirowoozo ku ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kwongedde okutaataaganyizibwa n'okuggyamu omukoosi mu lutuula lwa Palamenti olusoose enkya ya leero oluvannyuma lwOmubaka wa Disitulikiti y'e Amuru , Lucy Akello okutegeeza olukiiko nti abajaasi bayingidde Palamenti era nga bali mu kifo ababaka  Abakulisitaayo mwebasinziza ( House's Anglican and catholic chaplaincy) 

Omubaka Akello abadde y'akava ku muzindaalo , Omubaka wa Bukholi ey'amasekkati era nga ye mumyuka wa Ssentabe w'akabondo k'ababaka ba NRM , Silwany Solomon n'akakasa  Palamenti nti abajaasi abali mu kifo awasinzizibwa ababaka yabalabye naye babadde bazze kusaba (kusinza) ekiggya babaka banne aba NRM mu mbeera nebamukuba olube ekiviiriddeko Sipiika okwongezaayo olutuula okutuusa essaawa munaana lulyoke luddemu okutojjera.

Wabula ekireese akasambattuko nga ababaka bafulumye ekisenge mwebateeseza be babaka ab'oludda oluvuganya Gavumenti era abawakanya ekiteeso kino okulwanagana n'abaserikale nga babaggyako amasowaani, ebikopo, obucupa bw'amazzi n'ebintu  ebirala ababaka byebagamba nti  abajaasi byebabadde bakozesa.

 

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply