Eby’okwerinda bitadde ekibuga Kampala ku bunkenke

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Webukeeredde enkya ya leero nga Police eyongedde okunyweza eby’okwerinda mu Kampala wamu ne mu maka ga Col. Dr. Kizza Besigye e Kasangati mu Disitulikiti y’e Wakiso.

Aduumira Police mu Kampala n’emiriraano, Frank Mwesigwa agambye nti bo nga Police baabadde bakitegeddeko nti Col. Besigye wamu n’aboludda oluvuganya Gavumenti bateekateeka okuttukiza “Walk to Work” okuwakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga .

Kino wekijjide nga Dr. Besigye yakuba olukungaana lwa Bannamawulire n’asaba bannayuganda abalina amamotoka okugaleka awaka batambule oba bakozese entambula ez’olukale omuli Takisi ne Bodaboda wamu ne bbaasi.

Share.

Leave A Reply