Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 356 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Ebyokwerinda binywezeddwa nga Sejusa aleetebwa mu kooti.

February 2, 2016 · Mubiru Ali

Eyali akulira ebitongole ebikessi mu ggwanga General David Sejusa aleeteddwa mu Kooti ewozesa bannamagye eyitibwa General Court Martial esangibwa e Makindye, wano ebyokwerinda bibadde gguluggulu nga General aleetebwa okuva mu nkambi y’amagye esangibwa e Makindye mu Kampala.

Sejusa asomeddwa emisango omubadde okwenyigira mu byobufuzi, okwogera ebigambo ebisiga obukyayi mu bantu n’okukyayisa Gavumenti.

Kinajjukirwa nti General Sejusa yakwatibwa ku Sunday okuva mu makage agasangibwa e Nagulu nga abadde akuumirwa mu nkambi y’amagye eye Makindye.