Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 210 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ebyokwerinda binywezeddwa e Rukungiri

May 31, 2018 · Mubiru Ali

Okuddamu okulonda omubaka omukyala akiikirira distirict ye Rukungiri kwa leero wabula eby’okwerinda binywezeddwa era nga abasirikale ba poliisi balabiddwako kunguudo mu bitundu eby’enjawulo.

Patrick Onyango, omumyuka w’omwogezi wa poliisi agamba nti kino kikoleddwa okukuuma eddembe wamu n’okukuuma abalonzi nabavunaanyizibwa ku by’okulondo. Era ayongedde nannyonyola nti bajja kunyweza eby’okwerinda mu bitundu bye Buyanja, Kebisoni, Bikurungu, ne Nyarushanje, gyebasuubira okubeera effujo.

Okuvuganya okwamaanyi kuli wakati wa Winnie Masiko owa NRM, Betty Bamukwasa Muzanira owa FDC, Fabith Kukundakwe ย owa n’owa Independent Prisca Sezi Mbaguta.