Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 424 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Ebyokulonda temubitwala nga mulimu – Museveni

February 7, 2017 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde ababaka mu Palamenti ab’ekibiina kya NRM obutakozesa byakulonda nga engeri y’okufuna emirimu.

Museveni bino abituuseeko bwabadde mu lukiiko n’ababaka b’akabondo ka NRM e Ntebe nga balondamu ababaka abanaakwatitira NRM bendera mu kalulu k’ababaka abakiika mu Palamenti y’amawanga g’obuvanjuba.( EALA).

Omukulembeze w’eggwanga eyongedde okutegeeza ababaka nti omukago gw’amawanga g’obuvanjuba teguli ku byanfuna byokka, wabula enkolagana ey’omuggundo mu byensuubulagana ne n’ebyobufuzi so so nga bwolaba omukago ogwa COMESA.

Kyokka olumalirizza okwogera ebigambo ebyo n’asaba ab’amawulire babawe ekyanya nga bava mu kizimbe ababaka mwebabadde olw’ensonga nti babaddeko ensonga zebagenda okwogerako nga za kyama.

Wano ababaka bagenda kulondako abantu mukaaga ku 43 abaggyayo empapula z’okwesimbawo.