Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 294 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Ebyogerwa nti abasirikale baggya ssente ku basuubuzi mu Trust Arcade bya ppa – Patrick Onyango

February 29, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo ku katambi akabadde katambuzibwa ku mikutu gya Social Media ngalaga abasirikale ba Poliisi nga bagabana ssente ezigambibwa okuba nti zagiddwa ku basuubuzi mu kikwekweto kyebakola ku Trust Arcade. Onyango agamba nti;
1. Ekikwekweto kyakolebwa mu mateeka nga Poliisi ekimanyiiko bulungi ngeri wamu n’ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB). Ono agamba nti ekikwekweto kino tekyakolebwa basirikale ku lwabwe. Ekikweto kino kyakolebwa okuva nga 23-24/2/2024. URSB yakikola okufuuza abaccupula ebintu wamu n’okukozesa obubonero bwabalala ku bintu ebijingirire ku Jik. Basaba obuyambi bwa Poliisi era Poliisi nekiriza.
2. Ekikwekweto kino kyakolebwa oluvannyuma lwokutegeeza ku bakulembeze b’abasuubuzi.
3. Abasirikale ba Poliisi tebasaba yadde okuggya ssente ku basuubuzi. Mu katambi omusirikale wa Poliisi alabibwako ng’abala ssente. Ssente zino zabaweebwa URSB mu butongole ng’ensako y’ekyemisana so ssi basuubuzi.
Onyango asabye oyo yenna ayinza okubeera n’obubaka bwonna obwawukana ku buno okugenda aloope mu Police Professional Standard Unit n’obujulizi obulaga nti abasirikale baggya ssente ku basuubuzi mu kikwekweto ekyo.