Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,806 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ebyo byonna ebikosa obutonde tubyewale – Ssaabasumba Dr. Lwanga

December 23, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito  Lwanga asabye Gavumenti okufuba okulaba nga eyongera embavu mu kubangula abantu ku mugaso oguli mu kukuuma obutonde bwensi.

Dr. Lwanga bino abyogeredde mu bubaka bwe obwa Ssekukkulu bw’abadde mu makaage e Lubaga, n’agamba nti obutonde bwensi busaanyeewo nga kyekivuddeko n’enjala ani amuwadde akatebe, y’ensonga lwaki bannansi beetaagisa okubangulwa ku mugaso gw’okukuuma obutonde bwensi.

Ssaabasumba ayongerako nti omwaka oguggya bagenda kufuba okulaba nga abayizi naddala ab’eddaala erya Ssekondale bagenda kusomesebwa kumugaso oguli mu kukuuma amaka nga matebenkevu nga temuli butabanguko.