Breaking
News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ku St Mark High School e Kayunga. News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya kwaleero nga 692026 ku St.Mark High School Busaana Kayunga Bugerere. Okuyingira News: Program Gasimbagane ne Bannamawulire mwebakwatidde Charles Rwomushana olwaleero, ekusubye?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 105 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ebyettaka ly’e Nakawa bibuzaabuza

April 22, 2022 · Mubiru Ali
Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko akateekebwawo okunoonyereza ku mivuyo egyetobeka mu kugaba ettaka lya Naguru – Nakawa bawunikiridde oluvannyuma lwokukizuula nti Kkampuni ezimu ezaweebwa ettaka lino tezirina busobozi kulikulaakulanya nga nabantu abalala bafuna ettaka lya mirundi ebiri.
Muno mwabadde Omuyindi Anil Damani eyaweebwa yiika 3 okuzimbako ennyumba ezisulwamu ngono bwebayise bannannyini kkampuni ya Dembe era y’omu najja nga mu kkampuni eno alinamu emigabo ebitundu 98 ku 100. Ono yafuna yiika 3 ezasooka nga ekiragiro kyava wa Pulezidenti ngayita mu Minisita w’ettaka ekiseera ekyo.
So nga ne Munnamateeka we Ronald Asiimwe naye yabadde alina emigabo mu kkampuni endala eya Dominion Partners Limited nga nayo yaweebwa yiika 1.