Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 59 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ebyettaka bikyalanda e Mubende, 300 bali mu bbanga

June 7, 2017 · Mubiru Ali

Gavumenti eyolekedde okufiirwa obuwumbi bw’ensimbi za Yuganda busatu mu kugula ettaka ery’empewo erivuddeko n’obutali butebenkevu e Mubende. 

Omubaka wa Pulezidenti e Mubende,  Florence Beyunga ategeezezza nti ensimbi zino obuwumbi busatu zaali za kugulira batuuze ttaka eriwezaako yiika 984.7 ku kyalo ky’e Ddegeya e Kasambya mu Disitulikiti y’e Mpigi. 

Florence Beyunga annyonnyodde nti ekyennaku ensimbi zino bebaaziwa okugulira abatuuze ettaka,  baazeekomya ekiviiriddeko abatuuze abasoba mu 300 okunoonya ettaka ku kyalo kino Ddegeya e Mpigi neribula olwo nebadda nebagumba e Mubende ku kyalo Lutunku mu ggombolola y’all e Manyogaseka ekireeseewo obutali butebenkevu mu bitundu.

Abatuuze bano okutuuka e Mubende baava mu kyalo Luwunga ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Kiboga gyebaagobwa ku ttaka ly’ebibira olwo Gavumenti n’esalawo okubagulira ettaka eddala webalina okusenga wadde nga naryo ensimbi zaalyo zaaliiriddwa era teririiyo.

Wabula kigambibwa nti mu kiseera kino ettaka lye bagumbyeko lya Tumwine ne Kakuba Stella bo nga abantu kwebasazeewo okwesenza okwesasuza.