Ebyenjigiriza byetaaga okuba ku mwanjo mu mbalirira y’eggwanga – Minisita Muyingo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Minisitule evunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyemizannyo egamba nti ebyenjigirza byaliteekeddwa ku mwanjo nnyo mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2018/2019 ng’eyongerwa ensimbi, kigibozeseze okutumbula eby’enjigiriza naddala ebyo ebiwa abantu abukugu obunaabayamba okwetonderayo emirimu.

Bw’abadde ayogerako ne Luboggola Simba mu mboozi ey’akafubo, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza eby’amatendekero aga waggulu , Dr. JC Muyingo agamba nti, beetaaga okwongerwa ensimbi kibasobozese n’okwongera okuwandiika abasomesa ku mitendera egy’enjawulo nga kwogasse n’okubazimbira amayumba mwebasula ku masomero okusobola okukendeeza okwebulankanya ate gattako n’okuyambako abo abatambula engendo empanvu oluusi ekibaviirako n’okuyosa okukkakkana ng’omutindo gw’ebyenjigiriza guseebengeredde.

Dr. Muyingo alaze n’obwetaavu obuliwo okukyusa amangu mu bisomesebwa mu masomero olwo abayizi basomesebwe ebyo ebibayamba mu katale k’emirimu so ssi kusomesebwa bikwate .

Share.

Leave A Reply