Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,357 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Eby’ekyomusanvu bifulumye, abalenzi basinze abawala

January 12, 2017 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyava mu bigezo by’ekibiina ekyomusanvu  mu ttuntu lya leero nga ku luno abayizi bakize ku mwaka guli ogwayita ogwa 2015.

Okusinziira ku bigezo bino ebifulumiziddwa Ssaabawandiisi w’ekitongole kino Daniel Odongo  mu Yafeesi ya Ssaabaminisita, abayizi ab’obulenzi bakize ku b’obuwala. Daniel Odongo agamba nti abayizi basinze kukola ssomo lya SST, neriddirirwa Olungereza, Ssaayansi awo okubala nekuddako.

Wabula ebigezo bya abayizi 1886 bikwatiddwa oluvannyuma lw’okwenyigira mu kubba ebigezo.

Ssaabawandiisi agamba nti ebiva mu bigezo biraga nti , amasomero g’obwannannyini gakoze bulungi okusinga aga Gavumenti (UPE) ate era nga agoomubibuga gasinze agoomubyalo.