Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 287 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Ebyavudde mu kugolola ebigezo ebyatuulibwa abasomesa ba P7 e Nakaseke bifulumye

March 27, 2024 · Mubiru Ali
Ebyakava mu kugolola ebigezo ebyaweebwa abasomesa ba Pulayimale mu Disitulikiti y’e Nakaseke biraga nga omusomesa eyasinze bweyafune 97% mu kubala ate eyakoze obubi yafunye 27% mu Science. Ssentebe wa LC5 Ignatius Koomu Kiwanuka, yabayanjulidde Olukiko lwa Council ya Disitulikiti olutudde era nategeeza nga bwebagenda okufulumya ebyavudde mu bigezo bino byonna oluvannyuma lwa Ppaasika.
Koomu ategeezezza nti tagenda kutiisibwatiisibwa nga agezaako okugogola ekitongole kyebyenjigiriza mu Disituliki ye. Ono agamba nti abasomesa balina okubeera n’obusobozi okusomesa amasomo gebaba bakuguka mu nti era balina okubeera n’obukugu obusobozesa abayizi okugayita.
Ono ategeezezza nti abasomesa abanalemererwa okufuna obubonero 60 bakutwalibwa bongere okubangulwa.