Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 389 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

ebyappa otto byeyaleeta sibyange – kasekende

December 21, 2018 · Mubiru Ali

Omumyuka w’akulira Bbanka enkulu eya Yuganda Louis Kasekende, avuddeyo mu kakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola ebitongolebya Gavumenti aka COSASE neyegaana ebyapa by’ettaka 75 ebyalagibwa omubaka wa Aruu County Odonga Otto. Ono agamba nti ettaka eryogerwako si lirye.
Ono era awandiikidde n’Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga nga yemulugunya ku mubaka Otto nga agamba nti yamukonjera kuba ebyapa ebyogerwako nti bibye byaba nganda ze n’abantu abalala batamanyiiko.
Wabula ye Omubaka Otto yategeezezza nti Minisitule y’ebyettaka yakakasiza nti ebyapa 16 ku ebyo 75 biri mu mannya ga Kasekende.