Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 350 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Ebya tikiti z’omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna bitabukidde Magogo

June 21, 2017 · Mubiru Ali

Ekibiina ekifuga omupiira mu nsi yonna kitandise okunoonyereza ku Eng. Moses Magogo Pulezidenti w’ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga nga emberebezi eva ku kuteeberezebwa kuba nti yatunda tikiti z’omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna (World Cup) ogwa 2014.

Okusinziira ku bbankaluuwa eyaweerezebwa Magogo nga eva mu Kibiina ekifuga omupiira mu yonna, kiraga nti ono avunaanibwa gwa kutunda tikiti ezaali ziweereddwa Bannayuganda okugenda okwota obuliro empaka zino. Kimanyiddwa nti eno nkola ya FIFA okuwaayo tikiti eri ebibiina ebifuga omupiira mu mawanga ag’enjawulo mu nsi yonna bannansi basobole okuzifuna ku kasente akasaamusaamu.

Ye Magogo yakkirizza nti amawulire gano gaamutuuseeko era n’ategeeza nti ba puliida be ensonga eno batandise okugibagako

Omusango guno gwateekebwayo Omubaka mu Palamenti owa Makindye ey’obukiika kkono  Allan Ssewanyana ng’alanga Magogo kutunda kitiki 177  mu America ezaali ziweereddwa Bannayuganda.