Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 427 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

ebya siraje bakaleke bibi

January 16, 2019 · Mubiru Ali

Omulamuzi Moses Nabende owa kkooti ewozesa abalyake e Kololo ayongezzaayo ekibaluwa kibakuntumye ekiragira okukwata eyali omuduumizi wa poliisi owa Kampala South, Siraji Bakaleke avunaanibwa emisango 12 okuli okuwamba n’okubba bannansi ba Korea.
Nga October 5, 2018 omulamuzi Nabende yayisa ekiragiro kino ng’alagira Bakaleke akwatibwe kubanga yali alemeddwa okweyanjula mu kkooti kyokka nga banne bwe bali ku musango guno baali beeyanjudde. Kati giweze emirundi etaano nga kkooti eno etuula kyokka nga Bakaleke talabikako era nga ne poliisi ekyalemeddwa okumuleeta ng’omulamuzi Nabende bwe yabalagira.
Baserikale banne bwe bavunaanibwa okuli D/ASP, Robert Munezero, D/ASP Innocent Nuwagaba, PC Junior Amannya, PC Gastavas Babu ne PC Keneth Zirintusa beeyanjudde mu kkooti ne babasomera emisango gino.
Omulamuzi Nabende olusomye fayiro y’omusango gwa Bakaleke ne banne baamutegeezezza nga ye bw’ataliiwo ne balooya be bwatyo n’ayongezaayo ekiragiro ekimukwata okutuusa nga February 14, 2019.
Okusinziira ku muwaabi wa gavumenti, Angom Bakaleke ne banne, wakati wa February 4 ne 11, 2018 nga basinziira mu kitongole kya poliisi baakozesa bubi ofiisi ne bakwata bannansi ba Korea okuli Park Seunghoon, Jang Seungkwon ne Ha Dongsub ne basibwa mu bumenyi bw’amateeka.
Bakaleke era avunaanibwa omusango gw’okwekobaana ne Samuel Nabeta ne bafera ssente ezikunukkiriza mu buwumbi bubiri (ddoola 415,000) okuva mu kkampuni ya Mckinley Resource Company Ltd .
Bano era bavunaanibwa n’okuwamba Abakorea Park Seunghoon, Jang Seungkwon ne Ha Dongsub wakati wa February 4 ne 11, 2018 n’emirala