Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 633 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

EBYA RDC HUDU HUSSIEN ABANTU OKUSASULIRA EDDAGALA ERIGEMA COVID-19 BYAPPA

November 18, 2021 · Mubiru Ali
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Ministry of Health- Uganda Dr. Diana Atwine avuddeyo nayanukula RCC wa Kampala Hudu Hussein eyavuddeyo nagamba nti omwezi wegunatuukira mu January 2022 Munnayuganda anaaba tanagemebwa agenda kuba alina okusasulira eddagala lyokumugema kuba okugema okwobwereere kukoma mwaka guno mu December. Hudu ayongerako nti oyo anaaba tanagemebwa naafa ekirwadde kya COVID-19 bujja kuba bulagajjavu bwoyo afudde.
Dr. Atwine agumizza Bannayuganda nti eddagala erigema eddwadde yonna lyabwereere mu Yuganda nga ne COVID-19 mwomutwalidde lyabwereere. Atwine akubirizza Bannayuganda okugenda okubagema.