Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 123 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ebya Olympics bitunuzza abakulira eby’emizannyo ebikalu mu Kakiiko ka Palamenti

September 1, 2016 · Mubiru Ali

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byenjigiriza n’ebyemizannyo kakunyizza olukiiko oluvunaanyizibwa ku by’emizannyo mu ggwanga aka National Council for Sports olw’e bigambibwa nti ttiimu y’eggwanga e yatwalibwa mu mizannyo gya Olympics mu Brazil teyavaayo na mudaali gonna.

Olukiiko lwa National Council of Sports nga lukuliddwamu Sssaabawandiisi waabwe, Nicholas Bulamagi lulabiseeko eri akakiiko kano okunnyonnyola lwaki ekibinja kya bannayuganda 20 abeetaba mu mizannyo gino omuli ; Abaddusi, Abawuzi n’abakubi b’ebikonde mpaawo yabuukayo wadde n’akantu.

Akakiiko kano kakulirwa omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti, Xtine Galiwango Nakayenze.