Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 393 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ebya Minisita Amongi bibi eri akakiiko k’omulamuzi Bamugemereirwe

May 7, 2018 · Mubiru Ali

Akakiiko akakola okunooyereza mu mivuyo egyetobese mu nsonga z’ebyettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemerirwe katiisatiisizza okufulumya ekibaluwa ekiragira police okugombamu obwala Minisita w’ebyettaka Betty Amongi singa alemererwa okussa ekitiibwa [mu kakiiko kano n’alabikako enkya ku Lwokubiri ki kitebe ky’akakiiko kano e Wandegeya.ย 

Kino kiddiridde Minisita ono obutalabikako mu kakiiko kano nga bwekyabadde kirina okuba wabula ate n’asindika ebbaluwa eraga nti Ssaabaminisita yamulagidde obutawaayo mawulire gonna gakwata ku ssente z’ettaka okutuusa nga Olukiiko lwa ba Minisita lumaze okuzikakasa.

Era mu bbaluwa eno y’emu, Amongi asabye akakiiko kamwongereyo obudde amale okwebuuza ku lukiiko lwa ba Minisita alyoke alabikeko mu kakiiko kano.

Wabula ye akulira akakiiko kano omulamuzi Catherine Bamugemereirwe alumye ejjiiko era n’alabula nti Singa Amongi talabikako mu kakiiko kano enkya, ekibaluwa ekiragira okumukwata kyakuluma mbagirawo era kiweeebweko Sipiika wa Palamenti, Ssaabaminisita, Ssaabapoliisi wamu ne kunsalo za Yuganda wonn.