Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 284 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Ebya Kato Lubwama tebinnaggwa, bibi

December 19, 2016 · Mubiru Ali

Kooti enkulu mu Kampala  emisana gya leero ekkirizza omulonzi mu Lubaga ey’amaserengeta Habib Buwembo okugenda mu maaso n’omusango gweyawaabira omubaka mu Palamenti Kato Lubwama owa Lubaga ey’amaserengeta nga yeemulugunya ku buyigirize bwe.

Omulamuzi Oguli ategeezezza nti okusinziira ku bujulizi obuliwo bukyoleka lwatu nti omuntu ono (Habib)alina obuyinza okutwala omusango guno m maaso , kubanga okusinziira ku bujulizi obuliwo kiraga nti Certificate ya S.6 eya Kato Lubwama, yali tewandiisiddwa mu kitongole kya Uganda Registration Bureau of Services .