Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 306 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Ebya Kanyamunyu bikyalanda

January 31, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabawaabi wa Gavumenti alagidde Mathew Kanyamunyu, muganziwe Cynthia Munwangali ne mu mukulu we Joseph Kanyamunyu babe nga basindikibwa mu kkooti enkulu gyebaba bavunaanibwa emisango egyekuusa ku kutemula Kenneth Akena.

Empapula ezisindika abantu bano mu kkooti enkulu zireeteddwa era neziweebwa omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti  e Nakawa, Noah Ssajjabi okuva eri omuwaabi wa Gavumenti Doreen Erima.

Omuwaabi wa Gavumenti agamba nti obujulizi obuliwo bumala bulungi okuluma abawawaabirwa  ku musago ogwazzibwa nga 12, Museene omwaka ogwaggwa ku luguudo lwa Jinja nga Kanyamunyu agambibwa okukuba Keneth Akena amasasi oluvannyuma lw’okukolobola emmotoka ye .

Mathew Kanyamunyu ne banne bwebavunaanibwa bazziddwayo ku alimanda e Luzira okutuusa ku lunaku olunassibwawo okulabikako mu kkooti enkulu.