Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 352 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ebya Frank Gashumba bibi

October 31, 2017 · Mubiru Ali

Frank Gashumba ebibye byongedde okubijja, akwatiddwa ne PassPort bbiri nga ziri mu mannya ga njawulo nga kigambibwa nti zombi zize .

Wabula ate menne  bwebakola bakola – Innocent Kasumba nga yeyita Mutabaazi Simon ekitongole ky'amagye ekikola ku konoonyereza misango, bwekyagenze okwaza mu maka ge basanzeemu ssitampu makumi abiri ez'ebitongole eby'enjawulo omuli ne Minisitule y'obutebenkevu, y'ebyobulimi Eby'ennyanja n'obulunzi.

Kigambibwa nti gyebuvuddeko abantu bangi babadde beemulugunya ku Frank Gashumba nga bwayonoonye amannya gaabwe nga yefuula akola okunoonyereza ku by'obugagga byabwe ku lwa Kalisoliiso wa Gavumenti.

Wabula era bwebagenze okwaza mu yafiisi ya Frank Gashumba, basanzeemu Passport eyookubiri nga eri mu mannya ga Gashumba Franco Malimungupassport no B0958085, ne ssitampu endala  nnyingi eza Minisitule za Gavumenti.

Bakuumirwa ku kitebe kya ba mbega e Kireka era enkya baakuleetebwa mu kkooti baggulweko emisango .