Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 275 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Ebya Fr. Kibuuka okuzaala mu Nantongo bijingirire – Police.

March 4, 2016 · Mubiru Ali
Fr . Kibuuka
Fr . Kibuuka agaba omukisa
Winnie Nantongo
Nantongo Winnifred

Okunoonyereza kwa Police mu byogerwa nti  Rev .Fr. Kibuuka  Jacinto yazaala mu muwala Nantongo kulaze nti byonna bijingirire era Fr. asibwako matu ga mbuzi kumuliisa ngo . 

Nantongo amazze ebbanga dddene ng’atadde Fr. Kibuuka mu mawulire nti omwana gw’alina wuwe .

Ng’ayogerako mu lukungaana lwa bannamawulire ku CPS  mu Kampala Afande Fred Enanga agamba oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza okumala , obujulizi bwonna obuleeteddwa ku Fr. Kibuuka bujingirire .

Wabula kati Police egamba nti egenda kuvunaana Nantongo olw’okugiwa amawulire amakyamu .

Afande Enanga agamba nti balina amawulire nti abali emabega w’okwonoona erinnya lya Fr. Kibuuka basooka kumusaba ssente bweyagaana okuzibawa, ensonga nebazizza mu mikutu gy’amawulire .

Wabula ye Fr. Kibuuka bwetwogeddeko naye agamba nti asonyiye Nantongo n’abo bonna ababadde bagezaako okuttattana erinnya lye .