EBYA COVIDEX MULI KU BYAMMWE FFE TETULIMANYI – WHO

Pinterest LinkedIn Tumblr +
EBYA COVIDEX MULI KU BYAMMWE FFE TETULIMANYI – WHO:
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byobulamu mu nsi yonna ki World Health Organization (WHO) kivuddeyo nekitegeeza nga bwekinawa lukusa kutandika kukozesa ddagala lyakinnansi erya #Covidex eryayiyiziddwa Munnayuganda Prof. Ogwanga mukujanjaba ekirwadde ki lumiimamawuggwe ekya COVID-19.
Okusinziira ku Dr. Solome Okware bwabadde ayogera ne VOANews ategeezezza nti Covidex teyaliimu ku ddagala erinnansi eryekeneenyezebwa.
Ayongeddeko nti WHO yebuuza ku banoonyereza okuva mu nsi za Afirika 9 nga ne Yuganda mweri mu March ku ddagala erinnansi eriyinza okujanjaba COVID – 19 nti naye Covidex teyaliimu.
Share.

Leave A Reply