Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 134 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Ebizibiti ebyasangibwa mu Room ya Bobi Wine tetubirina – Amaggye

September 7, 2018 · Mubiru Ali

Emmundu ezaleetebwa nga ebizibiti mu Arua nti zasangibwa mu Room ya Hotel Omubaka Kyagulayi Ssentamu, okusinziira ku nsonda mu Poliisi abakola okunoonyereza ku byaliwo mu kulonda mu Arua Municipality tebafunanga file yamusango guno wadde ebizibiti ebyalagibwa mu Kkooti y’amaggye.

Omu ku banoonyereza atayagadde kwatuukiriza linnya lye ku kitebe kya CIID e Kibuli agamba nti agamba nti tewali yali alabye ku mmundu ezalagibwa mu ku Poliisi.

Wabula omwogezi wa UPDF Brig. Richard Karemire agamba nti emmundu zino tezisobola kuba nga zikyali mu mikono gya UPDF kuba ebizibiti byebimu birina okukozesebwa mu musango gw’okulya mu nsi olukwe mu Kkooti y’omulamuzi e Gulu.