Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Ebivudde mu kulonda kwa NRM

Ebyavudde mu kulonda kwa National Resistance Movement okusinzira ku Ssentebe w’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi biraga nti Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga yafunye obululu 6776 ate ye Omubeezi wa Minisita ow’ebyettaka Persis Namuganza 3882 ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe owookubiri.
Ku ky’omumyuuka wa Ssentebe ow’omumambuka ga Yuganda Omumyuuka wa Sipiika Jacob Oalanyah yafunye 7473 ate ye abadde mu kifo kino Sam Engola nafuna 1665 votes. Timothy Okee Jokene yafunye 895 ate ye Dr Odongo Oledo nfuna 277.
Ku ky’omumyuuka wa Ssentebe ow’ebuvanjuba wetugidde mu mawulire nga bakyabala ebyavudde mu Disitulikiti 16 wabula nga ebiriwo biraga nti Capt. Mike Mukula akyaleebya n’obululu 5818, Sanjay Tana 4162, Akello Christine 162.
Ku kya Kampala Region; Singh Katongole yafunye obululu 4503, Godfrey Nyakana 2665, ne Salim Uhuru 2466.
Ku ky’omumyuka wa Ssentebe ow’ebuggwanjuba Chris Baryomunsi yafunye obululu 5947 nasigukulula Maj. Gen. Matayo Kyaligonza 2550. Florence Kintu Tumwine 1875, Muhangi Wilberforce 1255, Boaz Kafuda 602 ne Dr Diini Kisembo 224.
Ku ky’omumyuuka wa Ssentebe owa Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi yafunye obululu 4749, Moses Karangwa Kalisa 3701, Kiganda Twaha Ssonko 1048, Mayengo Moses 127 ne Magaro John 675.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort