Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Ebikwekweto ku boda boda biyimiriziddwa

August 5, 2018 · Mubiru Ali

IGP Okoth Martins Ochola ayimirizza ebokwekweto ku Boda Boda mu Kampala n’emiriraano era nalagira ASP Luyima James atandike okunoonyerezebwako mu bubaka bwawerezza Director wa Traffic and Road Safety Dr. Stephen Kasiima.

Kigambibwa nti IGP okuyimiriza ebikwekweto bino kidiridde abanti abawerako okwekubira enduulu nga bagamba nti ebikwekweto bino bifuuse olusuku oluvaamu ensimbi z’Abasirikale ba Traffic bulu lunaku nga bakwata aba Boda Boda oluusi awatali musango nebabata oluvannyuma lw’okubawa ssente.

Agava munsonda ezesigika galaga nti obubbi buno bubadde businga ku Poliisi ya CPS wamu neye Katwe awasinga okusibirwa abavuzi ba Boda. Ye Omwogezi w’ekitongole kya Traffic ACP Charles Ssebambulidde bwetwogeddeko naye tawakanyizza kino yadde nga era takikakasizza nga agamba nti naye abiwulidde mu ngambo wabula akyalinda kiragiro okuva eri mukama we Dr. Kasiima.