Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 161 listening Simba FM Live

Ebika ebirala 7 nabyo bitaddewo ebibumbe ku Kabkanjagala

May 23, 2020 · Mubiru Ali

Ebibumbe by’ebika ebirala musanvu (7) byongeddwako kwebyo ebiri ku luguudo Kabakanjagala.

Mu bireeteddwa olwa leero, Kayozi, Nkusu, Nkerebwe, obutiko, Ngaali, enjaza, Enjobe, bino biwezezza omuwendo gwa bibumbe 33 ebyakateekebwa ku Kabakanjagala.

Bwabadde ayogerako eri ab’amawulire mu kuteekewo ebibumbe bino, Minisita w’Obuwangwa, Ennono, n’Obulambuzi, Owek David Kyewalabye Male, agambye nti ebibumbe Biteekebbwawo abaana basobole okulaba ebika byabwe bwebifaana era n’abalambuzi okulaba ebibumbe by’ebika by’abaganda byebifaanana.