Ebbula ly’abasolooza omusolo lisattiza abavunaanyizibwa ku nnyingiza ya Disitulikiti – Mubende

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ebbula ly'abakozi mu bitongole ebisolooza emusolo e Mubende lisattiza abavunaanyizibwa ku nnyingiza ya Disitulikiti  ekivuddeko emirimu obutatambula.

Ndabiraawo Patrick avunaanyizibwa ku by' ensimbi mu Disitulikiti e Mubende ategeezezza nti balina emiruka 149 mu Disitulikiti naye ku gino balinako abakozi abemiruka 50 bokka. 

Annyonnyodde nti kibaviiriddeko okufiirizibwa  ensimbi nnyingi ab'emiruka zebateekeddwa okusolooza ku byalo naye nga kino tekikolebwa olwo obutabeera nabo.

Ndabiraawo agasseeko nti n'abakozi be balina ku magombolola tebamala naddala abavunaanyizibwa ku by'ensimbi nga amagombolola agateekeddwa okubeerako ababalirizi  wamu n'abamyuka baabwe agasinga tegabalina.

 

Share.

Leave A Reply