Breaking
News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 374 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Ebbula lya condom e Kabale lyongedde kukusaasana kwakawuka akaleeta mukenenya – Alfred Besigense

February 25, 2026 · Radio Simba

Ebbula lya condom e Kabale lyongedde kukusaasana kwakawuka akaleeta mukenenya – Alfred Besigense

Akulira okusomesa ebyobulamu mu Disitulikiti y’e Kabale Alfred Besigense avuddeyo nategeeza ngomuwendo gw’abantu abakwatibwa akawuka akaleeta mukenenya bwegweyongedde. Ono agamba nti yadde omuwendo gwabakwatibwa obulwadde buno guli ku bantu 170 buli mwaka, naye wetwogerera nga mu myezi 2 gino egisoose bakafuna abalwadde abapya 40.
Alfred agamba nti kino kivudde ku bbula lya bupiira buggalimpitawa mu malwaliro ga Gavumenti okwetoloola Disitulikiti yonna. Ono agamba nti embeera yeyongera okusajjuka ekitongole kya United States Agency for International Development (USAID) bwekyalekerawo okubawa obuyambi nga kino kyakosa obuweereza obwebyobulamu okwali n’okulwanyisa okusaasana kwakawuka akaleeta mukenenya.
Alfred agamba nti ebbanga eriyise babadde bagamba obupiira obusoba mu mutwalo gumu mu malwaliro naye nga kati basobola kugaba 2000 ekitabasobozesa kumatiza bwetaavu bwabatuuze.
Ono akubirizza Abantu e Kabale okufaa

Radio Simba News