Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 202 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Ebbujje lisirikkidde mu nnabbambula w’omuliro – Mityana

December 28, 2016 · Mubiru Ali

Waliwo ebbujje lya myezi ena lisirikkidde mu nnabbambula w’omuliro akutte ennyumba mweribadde lyebase ku kyalo Jinja mu Ggombolola y’e Maanyi ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Mityana. 

Naiga Hawa abadde alekeddwa nnyina mu nnyumba nga akasubbaawa kaaka, kakutte akatimba mbu omuliro negulyoka gubuna obuliri bwona  wamu n’ekisenge.

Ye Maama w’omwana Kyomuhendo Betty abaddeko waalaze, agenze okudda ng’omuliro gukutte ennyumba yonna era nnassaako enduulu era abatuuze bagenze kuzikiza omuliro okutuuka ku mwana nga zeembuyaga ezikaza engoye .

Police y’e Maanyi eyise ginnewaayo ey’e Mityana okuggyawo omulambo ate ne maama w’omwana n’atwalibwa ku Police abitebye.

Lino litusakiddwa Joseph Balikuddembe .