Breaking
News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 193 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Ebbeeyi y’amafuta egenda tugoba mukusaabaza abantu

July 3, 2018 · Mubiru Ali

Abagoba b’ebidduka mu Kampala banyiivu olw’ebbeeyi y’amafuta eyekanamye. Bano bagamba nti okuva omwaka guno lwegwatandika ebbeeyi ย y’amafuta yeyongera kulinya era nga gyebweyongera Uganda eyolekera ekyaliwo mu 2007 Kenya bweyafuna obwegugungo oluvannyuma lw’okulonda.

Mu Kampala ebbeeyi y’amafuta ekyukakyuka okusinziira ku ssundiro okugeza ku masundiro g’amafuta aga Total okusinziira ku mukutu ggwa website balaga nti litre ya Petrol eri ku 4,048 shs ate Diesel ku 3,693 shs

Abavuzi ba Taxi ne Boda boda bagamba nti ebbeeyi y’amafuta okulinnya ekoeseza nnyo enyingiza yaabwe so nga ate bbo abasaabaze tebakiriza kwongera ku bisale byebasasula.