Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Ebbaluwa eri Pulezidenti wa DP Mao

#NdowoozaYaMuntu;

Ebbaluwa eri Pulezidenti Mao;
Eri President General Democratic Party UgandaUganda
Ssebo,
ENSO: Engeri omuntu wabulijjo gyalabamu ekibiina kya Democratic.Ssebo, nkuwandiikidde ng’omuntu ow’ekitiibwa nga bweywamu ne ka wayini kange akamyuufu okusobola okubeera ku mulamwa. Nkusaba okirize nkwoleke engeri Omuntu w’e Masaka owawansi bwalabamu ekibiina kya Democratic Party Uganda – DP ku bangi ku bbo bambuulira ng’omukulembeze waabwe mu Disitulikiti eno.Ssebo omukulembeze abantu bano Democratic Party – DP Uganda bagitwala nti erina ebiwayi ebibiri nga ekimu kiyitibwa ‘Embwa’ nga kino kirimu:1. Hon Norbert Mao (Pulezidenti wange Omulungi)2. Mr. Okidi Christopher 3. Dr. Gerald Siranda4. Imamu Makumbi5. Dr.Mayambala6. Mr. Sam Mali 7. Hon. Fred Mukasa Mbidde nga ono kigambibwa mbu yaleeta ensawo za ssente okuva mu maka g’omukulembeze okuzituusa mu kibinja kiri kyempise eky’e ‘Embwa’ ng’omuntu wawansi bwakiraba nti era bateekebwamu ssente;8. Mr Mugalula Mozy9. Mr Katende Moses
Ssebo Mwami Pulezidenti, Omuntu wawansi e Masaka yerabira mu kiti eky’okubiri ekimanyiddwa nga ‘Emmome’ era ekimanyiddwa nga ‘Emikira gy’embwa’.Ekyandeetedde okuwandiika ebbaluwa eno ye muntu wawansi ow’e Masaka akiriza nti bano abali mu kibinja eky’okubiri eky’emikira be bakulembeze bebakiririzaamu nga abakulembeze abatuufu wadde nze nzikiriza nti ggwe Mukulembeze. Bano bagamba nti ekibinja kino kirimu;Hon. Mathias Mpuuga.Hon. Medard Ssegona. Hon. Joseph Ssewungu.Hon. Muwanga Kivumbi.Hon. Florence Namayanja.Hon Veronica Nanyondo.Hon. Ssempala Kigozi.Hon. Lulume Bayigga,Counsel Kakande Kenneth PaulLegal Advisor Sam MuyizziHon. Serwadda Sulaiman Kidandala.Chairman Vincent Mayanja.Mr. JohnMary SsebuwufuMr. Samuel Walter Lubega Mukaaku.Hon. Michael Mabikke.Dr. Abed Bwanika.Hon. Moses KataabuHon Kambugu RobertMr Ngobya StevenHon Kayita All SserubiriHon Betty Nambooze Mrs Evelyn NamboogaMr Wamala Balunabba Hon Kasekende Ronald (Nsonyiwe Ssebo Pulezidenti nange bantadde mu kibinja kino era nenzikiriza kuba ndi muntu wa wansi ow’e Masaka.)Hon Babirye KabandaHon Robinah SsentongoHon Kirumira (Kyotera)Mr Kaweesi KaweesaMrs Naiga Agnes Mr Lukyamuzi Joseph Speaker Achilles MawandaMr Ssekamate Patrick Mr Kateregga Innocent Mr Kasirye Joseph Mr Ssembajwe Paul Mr Kanyike Ronald, N’abalala.
Ssebo Mwami Pulezidenti, nteese nti okusinga okutiisatiisa ng’ogoba Bannakibiina, kyetaaga oyite Abakulu mu DP wamu ne Bannaddiini abantu bebesiga wamu ne Bannakibiina abakirina omukono mutuule wabeewo okuteesa wakati w’emikira n’embwa, naye bwekitaabe ekyo ndaba nga abatadde omusumaali ogusembayo ku ssanduuke ya DP nga eyolekera okuziikibwa.
Ssebo Pulezidenti tetugenda kukiriza ndowooza ya Mwami Siranda nti DP tefaayo nebweba n’omubaka omu mu Palamenti kasita abeera nga akiririza mu kibinja kiri eky’embwa kuba twetaaga ebibinja byombi ngamba eky’embwa n’emikira era n’okufuna kkaadi ya DP mu bwerufu. Ssebo Pulezidenti kiriza ebigambo byange ebyo byenkozesezza okutuusa obubaka bw’omuntu wawansi.Ssebo ow’ekitiibwa nzikiriza nywe ku ka wayini kange akamyuufu era nkusuubira okunziramu bwoba nga DP ogirabira mu kifaananyi ekyawukana ku muntu wawansi ow’e Masaka.Ssebo nsaba nnyo oleme kukozesa Luzungu oluzibu olujjude vooka kuba kijja kuberera kizibu omuntu w’e Masaka owawansi okubitegeera.
Nze omuweerezawoKasekende Ronald Generational leaderYouth Councillor

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort