Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 345 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

E mityana kasasiro yakwaniriza

November 17, 2018 · Mubiru Ali

Abalina abaana ku ssomero lya Gavumenti erya Mityana Public School belarikiridde abaana baabwe okukwatibwa endwadde eziva ku kasasiro ayiibwa Ku kikomero ky’e ssomero.
Bategeezezza nti kasasiro ono olw’okuba tayoolebwa abaana bamweyambisa okuggyamu obuccupa mwebanywera obuugi.
Mu bifo ebirala omuli kasasiro kuliko n’ayiibwa mu gimu ku miryango egiyingira mu katale eyatuuse n’okuziba ekkubo n’ebifo ebirala mu kibuga.
Meeya wa Central divisoni Fred Wotonava yajulizza abakulembeze Ku Municipality. Tawuni Kilaka owa Munisipaali Joseph Ssebudde yategeezezza nti bali mu kaweefube wakukanika mmotoka z’akasasiro.