Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 426 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Drone gyebabatiza ennamba nga tesasude musolo ekwatiddwa URA

February 24, 2024 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kyakutte emotoka Toyota Hiace Drone eyagibbwa mu Ggwanga lya South Sudan neyingizibwa mu Ggwanga oluvannyuma nannyiniyo nagiteekako ennamba y’emotoka endala ekika kya Drone nga tagisasulidde musolo.
Ono teyakoma kugibatiza nnamba wabula yagiteekamu n’ekikuubo kya blue ekya takisi olwo netandika okusaabaza abantu ku luguudo lwa Mbarara-Kampala.
Abakwasisa amateeka okuva mu URA e Masaka batandika omuyiggo gwayo wabula tebasobola kugikwata ku misanvu egyateekebwawo emisana kuba baali basazeewo kusaabaza bantu kiro. Basudde emisanvu ekiro mu ttawuni y’e Kaddugula, olwo ne nannyini yo nanoonyezebwa era nga yatandise dda okuwerenemba n’emisango. URA ekubiriza Bannayuganda okukozesa amakubo amatuufu okuyingiza mu Gggwanga emotoka.