Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 314 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Dr.Wokadala ayimiriziddwa ku mirimu lwa bubonero bwa bayizi – Makerere

January 30, 2017 · Mubiru Ali

Amyuka Chancellor wa Makerere Yunivasite, Prof. Ddumba Ssentamu ayimirizza mbagirawo omusomesa Dr. James Wokadala ku mirimu lwakulemerwa kuleeta bubonero bwa bayizi.

Kigambibwa nti Dr. Wokadala nga musomesa wa Planning and Statistics aliko gweyawa okumugololerako ebigezo  nga ye Opiro songa kino kimenya mateeka ate Opiro n’alemera empapula zino olw’ebigambibwa nti abanja Dr. Wokadala.

Bwatyo Prof. Ssentamu n’amulagira ayamuke yafeesi mangu ddala era n’amuwa ne nsaleesale wa Lwakuna luno nga 2 Mukutulansanja essaawa mukaaga ng’awaddeyo empapula abayizi kwebaakolera ebigezo wamu n’obubonero oba ssi kyo ensonga zaakulinnya enkandaggo .

Chancellor ayongeddeko nti singa obubonero bunaabula, abayizi abakoseddwa baakukola ebigezo eby’enjawulo  ku Lwokutaano okusobola okutikkirwa.