Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 251 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Dr. Tanga Odoi alayidde obutetondera Kasule Lumumba

February 23, 2018 · Mubiru Ali

Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu NRM,  Dr. Tanga Odoi agambye nti tagenda kwetondera n'akatono kokka Ssaabawandiisi w'ekibiina kino Justine Kasule Lumumba nga abamu ku ba Ssentebe ba NRM aba zi Disitulikiti bwebaabadde basazeewo .

Bino bibadde mu nsisinkano ebaddewo akawungeezi ka leero ku Katikati Restaurant e Lugogo era nga wano ba Ssentebe ba zi Disitulikiti babadde basazeewo nti Dr. Tanga Odoi agwanidde okulekulira mu kakiiko k'ebyokulonda oba ssi ekyo yeetondere mangu Ssaabawandiisi w'ekibiina kino Justine Kasule Lumumba olw'ebyo byeyayogera gyebuvuddeko. 

Wabula Tanga bw'abadde ayogera ne Bannamawulire ku yafeesi z'akakiiko k'ebyokulonda wali ku luguudo lwa Kyaddondo mu Kampala agambye nti kikafuuwe okwetondera Justine Kasule Lumumba era n'agamba nti ayagala bamuwandiikire bamulage n'ensonga lwaki agwanidde okulekulira bw'aba teyeetonze. 

Bw'avudde awo n'agamba nti ba Ssentebe bano kirabika  baatuuse okwekkiriranya kubanga waliwo eyabawadde emitwalo gya ssiringi makumi ana ana bagende nga bamwogerako ebijweteke.