Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 228 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Dr. Stella Nyanzi ekibonerezo kye wakukifunira ku Video Conferencing

August 2, 2019 · Mubiru Ali

Kkooti ya Buganda Road evuddeyo netegeeza nti ekibonerezo ekigenda okuweebwa Dr. Stella Nyanzi egenda kukikolera ku ‘Video Conferencing’. Kino kitegeeza nti Dr. Stella siwakuleetebwa mu Kkooti olunaku olwaleero wabula agenda kusigala e Luzira olwo bamusomere ekibonerezo kye ku TV. Ono ye muntu ow’okubiri okuwozesebwa mu kkooti nga ali Luzira ku vidiyo nga ebigenda mu maaso mu kkooti abifunira ku TV nga eyasooka yali omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine