Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 259 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Dr. Stella Nyanzi asindikiddwa ku alimanda e Luzira

April 10, 2017 · Mubiru Ali

Omunoonyereza mu Makerere University, Dr. Stella Nyanzi asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga ennaku z’omwezi  25 Kafuumuulampawu omwaka guno oluvannyuma lw’okusimbibwa mu maaso g’omulamuzi mu kkooti yooku  luguudo Buganda neyeegaana emisango egimuvunaanibwa.

Stella Nyanzi nga aweza eg’obukulu 42 era nga mutuuze w’e Kyanja – Kisasi ekisangibwa mu Divizoni y’e Kawempe avunaanibwa emisango gyokukozesa emikutu gy’embikkulirwa kumanya n’assaako obubaka obuvvoola wamu n’okulengezza.

Oludda oluwaabi lutegeezezza kkooti nti Nyanzi ono wakati w’omwezi gwa Gatonya ne Muzigo, yakozesa omukutu gwe ogumanyiddwa nga gwa Facebook n’ayita Pulezidenti Museveni Obutuuliro.

Wabula ye omuwolereza wa Gavumenti abadde asabye omulamuzi asindike Nyanzi mu ddwaliro lya Luzira Murchison Bay amaleyo ennaku 14 asooke akeberwe oba oba nga obwongo bwe bukola bulungi.

Naye omulamuzi ali mu musango guno, James Eremye ategeezezza nti buvunaanyizibwa bwa kkooti okuzuula oba nga avunaanibwa asobola okwewozaako mu lulimi ye lwasinga okumanya, wabula n’agaana ekyokusaba kwa Nyanzi eky’okweyimirirwa era n’ategeeza nti alina okusooka okukola ku kusaba kwa Gavumenti okuzuula oba nga omutwe gwe (Dr. Stella Nyanzi) gukola bulungi .