Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 330 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Dr. Stella Nyanzi akaayuukidde Gavumenti ku bya Pads

March 7, 2017 · Mubiru Ali

Eyaliko omusomesa mu ssettendekero wa Makerere Yunivasite, Dr. Stella  Nyanzi yeerayiridde obutakkiriza Gavumenti kumulinnyako .

Kino kijjidde mu kissera nga Dr. Stella Nyanzi yayitiddwa Police olw’okukozesa olulimi oluvuma nga yeeyambisa emitimbagano gya Yintaneti gamba ”Social Media” nga ebigambo bino kigambibwa nti bityoboola Muka omukulemeze w’eggwanga ate Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza, Janet Kataha Museveni, nga okwogera bino yali ayanukula oluvannyuma lwa Janet Kataha Museveni okutegeeza Palamenti nga Gavumenti bwetalina nsimbi kugulira bayizi baabuwala ndoobe (Pads), oluvannyuma lw’ekiteeso ekyaleetebwa nga kino yoomu ku kaweefube w’okukendeeza ku baana abawala abawanduka mu masomero .

Wabula Dr. Nyanzi bwabadde ayogerako eri abaamawulire nga yaakamala okulabikako eri ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli, gyayitiddwa olunaku olwaleero okulabikako eri amyuka akulira ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango Joseph Obona , Nyanzi agamba nti ye talina kikyamu kyonna kyeyakoze olwokwogerako nti muka omukulembeze w’eggwanga alemereddwa okukola omulimu gwe  .

Nyanzi okuggya ku kitebe awerekeddwakko eb’ebitongole ebirwanirira eddembe ly’abakyala .