Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live
News

Dr. Lulume Bayiga ayabulidde DP neyegatta ku PFF

July 7, 2025 · Mubiru Ali
“Ekibiina kya Democratic Party Uganda kiri mu buwambe, kyawambibwa Gavumenti”
Omubaka wa Buyikwe South Dr. Lulume Bayiga olunaku olwaleero yegasse ku kibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) mu butongole okuva mu DP. Ono kinajjukirwa nti abadde nobukuubagano ne Pulezidenti wa DP era Minisita avunaanyizibwa ku ssiga eddamuzi Norbert Mao. Ono gyebuvuddeko yawangulwa Mao mu kalulu ka Pulezidenti wa DP, Mao abadde Pulezidenti wa DP okuva 2010.
#ffemmwemmweffe