DR FORM YA EC EWAKANYA ENJINGIRIRE NAYO ERIKO ENSOBI

Pinterest LinkedIn Tumblr +
DR FORM EWAKANYA ENJINGIRIRE NAYO ERIKO ENSOBI;
Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda(EC) olunaku lweggulo kavuddeyo nekakiriza nti wabaddewo ensobi mu DR Forms zebataddeyo okuwakanya ezateereddwayo nti njingirire ku ‘social media’.
Ebyateereddwayo bya Anyang Polling Station mu Disitulikiti y’e Nebbi nga biraga nti Patrick Oboi Amuriatyafuna obululu 6, Joseph Kabuleta, Willy Mayambala ne Norbert Maotebafunawo, Nancy Linda Kalembe ne John Katumbabuli omu 1 nga Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine8, Gregg Mugisha Muntune Fred Mwesigye 4, Tumukunde Henry Kakurugu 2 ate Yoweri Kaguta MuseveniTibuhaburwa 198.
DR From eraga nti obululu obutuufu bwali 300 so nga bwogatta omugatte ofuna 224.
Wabula oluvannyuma omwogezi w’Akakiiko Paul Bukenya yavuddeyo nategeeza nti ddala DR form ate eyateereddwa ku mukutu gwa twitter ogwa EC nti yabaddemu ensobi era nasuubiza okukirondoola munda mu Kakiiko okuzuula engeri gyebataddeyo eriko ensobi.
Share.

Leave A Reply