Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 606 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

DPP alagidde Ababaka 3 aba NRM okusindikibwa mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe

June 17, 2024 · Mubiru Ali

DPP alagidde Ababaka 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM basindikibwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe omusango gwa ‘Budget corruption’. Omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya ategeezezza Kkooti evunaana abali b’enguzi nabalyake ebadde ekubirizibwa Omulamuzi Joan Aciro nti DPP alagidde bano batwalibwe mu Kkooti Enkulu oluvannyuma lwa Uganda Police Force okufundikira okunoonyereza kwayo.
Wabula olunaku olwaleero Ababaka 2 bokka okuli; Yusuf Mutembuli ne Cissy Namujju bebaleeteddwa mu Kkooti ngamayitire g’Omubaka Akamba tegamanyiddwa.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga ku nsonga y’Omubaka Akamba ategeezezza Bannamawulire nti Poliisi temulina.
Bya Chrisitina Nabatanzi.