Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 936 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

DPP aggye ku muwandiisi wa Pulezidenti Museveni emisango

November 30, 2021 · Mubiru Ali
Director of Public Prosecutions asudde emisango egibadde givunaanibwa Caroline Kembabazi, ng’ono muwandiisi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ow’ekyaama nga abadde avunaanibwa omusango gwokuwa Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda amawulire amafu nga agezaako okufunira ab’eŋŋanda ze emirimu mu Kakiiko kano.
Mu bbaluwa emuggyako emisango DPP gyeyawandiikidde omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road, DPP Jane Frances agamba nti Gavumenti omusango yaguggyeemu enta era nemuggyako emisango.
Kembabazi 32, nga mutuuze w’e Kireka yakwatibwa Akakiiko akalwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi oluvannyuma lw’abakulu mu EC bwebekubira enduulu nti Kembabazi yali asusizza okubatiisatiisa wamu n’okubateeka ku nninga bawe aboluganda lwe emirimu.
Kigambibwa nti Kembabazi yatuuka nokulumba offiisi za EC nabatiisatiisa okubakolako singa bagaana okuwa abantu be emirimu ng’ekiragiro kyavudde wa Pulezidenti.
Kembabazi yali ayagala bawe Magezi, Duncan Muramuzi ne Elia Abomeire emirimu nga ba Assistant District Registrars.