Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 174 listening Simba FM Live

DP ewakanya obuwumbi 7 ez’okuddaabiriza amaka g’obwa Pulezidenti

September 13, 2016 · Mubiru Ali

Ab’ekibiina kya Democratic Party bawakanya ne ssekuwakanya yenna ekya  woofiisi y’omukulembeze w’eggwanga okusaba obuwumbi bwa ssente za Yuganda musanvu (7bn) okuddaabiriza amaka g’obwa Pulezidenti .

DP egamba nti kuno kudiibuuda nsimbi ya muwi wa musolo  mu bintu ebitaliimu nga tebirina kyebiyamba bannansi abasasula emisolo naddala mu kiseera kino nga ensimbi ya kaweereege ng’eddya ly’obukadde .

Bano bagamba nti sente ezo zisaanye okuteekebwa mu bintu ebitumbula embeera za bannansi, omuli ; Eby’obulamu, eby’e njigiriza , eby’entambula wamu n’ebirala njolo .

Okutuuka ku bino, Omwogezi w’ekibiina kino Keneth Paul Kakande abadde mu lukungaana lwa Bannamawulire  enkya ya leero wali ku kitebe ky’ekibiina ku City House mu Kampala .