Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 133 listening Simba FM Live

DP ewagira ekya Kayihura okudda ku bbali

August 2, 2016 · Mubiru Ali

Ekibiina kya Democratic Party (DP) kyegasse ku bannayuganda abalala abalowooza nti akulira ekitongole kya Police General Kale Kayihura addeko ku bbali olwa bannayuganda ba ssaalumanya abagendera ddala mu maaso n’okutulugunyizibwa .

Kino kijjidde mu kiseera nga abantu abawerako omuli n’ababaka mu Lukiiko lukulu olw’eggwanga , ebibiina by’obwa nakyewa, ebibiina by’obufuzi n’abalala bangi abaagala akulira ekitongole kya Police addeko ku bbali olw’ebigambibwa nti alina kyekubiira mu buweereza bwe ekintu ky’atateekeddwa kukola.

Bino Keneth Paul Kakande omwogezi wa DP abituuseeko ng’ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire olutuula buli lwakubiri ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala .